in ,

TUKWANILIZZA #Stories4Health

TUKWANIRIZZA

Tukwanirizza,

Essawa z’ezo nga bw’ozilaba.

Ennyumba y’eyo nga bw’ogisanze.

Eddiro lyasuze lityo,

Ekiro twabadde ku mudido.

Tusonyiwe tetwasuzizza ccayi,

Ssukali yafuuka wa bbula.

Oyo afuluta muto wange.

Awo weyasuze obuliri yabukowa.

Yalotera nga yo kumala kya musanvu.

Takyamanyi oba kinasoboka.

Agamba tannafuuka “essential learner.”

Wegendereze,

Tolinnya mu bigilasi.

Maama eggulo kata abongole taata omutwe.

“Ky’ani?”

“Kya maama.”

“Ky’ani?”

“Kya taata.”

Ffirimu twazivako twezannyira ezaffe wano.

Ebisenge olabika obyagadde.

Tulina omusiizi w’ebifananyi mu nju.

Art books zajjula bino byafuuka canvas ze.

Wano yali asiiga nsi nga bw’elifanana nga endwadde egenze.

“Head, shoulders, knees and toes, knees and toes, knees and toes.” Okawulidde kato kaffe?

Kaali kamanyiira okikeera ku ssomero kati kakeera kuyimba bye kasoma nga.

Mukulu waffe yafuuka ddikuula.

Data takyalina.

Smartphone yagwa mu nva z’ekyeggulo muzeyi kata amutemeko omukono.

Omutimbagano gwayita awo be “sswi!”

Akeera kwefulukuta.

Tava mu ssilingi.

Yeyita “pennywise.”

Akola obulobozi atiise kato kaffe mbu, “nkulye nkulye!”

Yali asoma busawo ku yunivasite.

Uniform zaffe yazisalasala akole “lab coat.”

Ebiyenje n’emmese yabituwonya.

Akeera kutukebera ffenna mbu tetumulwaza.

Taata entebe ye takyagitula mu,

Naye ageze agilusange mu.

Buli kimu kimunyiiza.

Bwetusirika ennyo nalwo lutalo.

Avuma buli muntu gw’alaba ku ttivvi.

Enjala bw’emuluma lutalo!

Bw’abulwa otulo lutalo!

Olumu akeera n’akuba amasuuti n’adda mu buliri ne yebaka.

Maama tetukyamanyi ddini gy’asoma.

Yayiga okwaziina,

Asoma ssappuli,

Bayibuli kumpi yonna agimanyi.

Olumu atugana okweyita amannya gaffe ag’eddini.

Bw’ayambala shariya olowooza azalibwa Saudi.

Bw’ayambala nga sister nti aleese bubaka kuva Roma.

Tukwanirizza munnaffe.

Webale kutusulira mwoyo.

Kansoke nkunonyeze w’otuula.

Abazadde nnyamba tontuma kubayita.

This post was created with our nice and easy submission form. Create your post!

Report

Written by NZE (0)

What do you think?

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

4 Comments

Mr President, open boda bodas NOW

A BUN IN THE OVEN: THE DAY I FIRST HEARD ABOUT YOU