in ,

OMGOMG LoveLove

KU KYOOTO PART 22 – OBUTONZI (NNALUBAALE SPIRITUALITY) – LUBOWA

Waliwo amaanyi ag’empingu nga gakolera mu Bwakinene ng’omukuumi oba Omutabaazi, Omusambwa, Ejjembe nga gakolagana n’ebiwayi bibiri; Magobwe ne Kiwanuka.

Lubowa ku b’owansi akola ng’omusirikale omukulu. Obwalubowa obusanga mu bisolo, biwuka, mu muddo, mpewo ssaako abantu n’emiti.

  • Omuti baguyita Lubowa era gwe nyoolanyoola n’omuzimu Lubowa
  • Abantu era abeera ayitibwa Lubowa
  • Empewo ejjembe Lubowa
  • Omuddo guyitibwa olubowabowa, akaddo akenyoolanyoola
  • Ekiwuka bakiyita Lubowa Kaasa
  • Mu binyonyi kiyitibwa Lubowa oluwugguwuggu
  • Mu misota Obwalubowa butambulira mu kinnamagoye, ekisota ekitaluma
  • Waliwo olusozi ng’e Kajjansi oluyitibwa Lubowa
  • Waliwo effumu eriyitibwa Lubowa
  • Abasirikale bayitibwa ambambowa; Lubowa akka ku muntu n’akola eby’obuzira, okutabaala, okulwana, emirimu, okufuna ssente, n’ebirala.

Buli akola empewo ateekwa kuwanga Jjembe lya Lubowa. Okusinga liwangibwa mu jjembe ly’embogo era mugendamu emiti miingi n’ejjinja eriva ku Lusozi Lubowa.

Lubowa abowa ebintu bingi. Akwata ababbi, agaba obuggaga, obukulu, awabula, aloosa, akangavvula abakyamu.

Mu Buganda ng’oggyeeko Kiwanuka ne Kawumpuli, ly’ejjembe ekkulu.

Waliwo olusozi Lubowa abantu gye bagenda okusinza n’okufuna amaanyi n’emmanyiso. Katonda yeeyambisa Lubowa okubowa abakyamu, okubasiba babonerezebwe basobole okubatereeza mu mbeera entuufu.

Abakozesa ebintu bya Lubowa babikozesa okukola bye baagala okutuukako.

Wazira waaliwo amayembe amalala mangi agakolera wamu ne Lubowa nga gano;

  • Kuwalire – Mutabaazi awabula
  • Nnamuzinda – Mutabaazi azingako
  • Nnambaga – Mutabaazi obukessi
  • Mulengera – Mutabaazi alumba
  • Kasajja – Mutabaazi atinda
  • Lukoma – Mutabaazi akola enteekateeka (ppulaani)
  • Kalondoozi – Mutabaazi anoonyereza
  • Ssebintu n’amalala – Mutabaazi akola ku kufuna.

Lubowa ali mu biti bingi; Obutonzi, Obutonde, Obubumbe n’Obuzaale era asobola okulabikira mu biti bingi; kale si kituufu omuntu obuntu oba omuweereza we okulowooza nti ye, ye Lubowa oli mu Bwalubowa.

Obwalubowa busirikale era bw’olaba ekifaananyi kino olabira ddala omumenke, anti abasirikale abamu babeera n’emirimu egy’enjawulo ekibafuula abaawufu ku balala era nga ssi baabulijjo nga bwe tulowooza.

Kati nga bw’olaba amagye aga bulijjo naye ng’omwo mwe muli bansolonkambwe oba bamuntunsolo. Kale Lubowa ne banne be twogedeko awo wagulu, bagwa mu kiti eky’abasirikale bansolokambwe oba bamuntunsolo.

*Ekitonde ky’omuntu ssi kyangu olw’engeri Mukama Katonda gye yakiwa okutegeera n’okwelowooleza ne kifuuka eky’omutawaana eri ensi.

Ate nga ku luuyi olulala ekitonde ky’omuntu kinafu ddala olw’okumanya okutono n’obwakiwagi.

Kale ng’empewo ez’efaanaanyiriza ekitonde zaali tezimala, ng’era, kyali kyetaagisa okwegattako abasirikale ab’enjawulo okusobola okunnyikiza omulimu gwa Katonda ku nsi.

Okwo kwe kwava okuleeta abasirikale ab’enjawulo, bakanywa-musaayi nga; Lubowa, Kawumpuli, Nnamuzinda n’abalala, okusobola okuffefetta abakyamu; nga babowa, bakuba, baketta, bazinduukiriza, balumba, babaga, banoonyereza, batinda, batabaala, basumulula, babonereza, bawabula n’okukola ebirala nga beetengeredde oba nga bakozi mu bitongole ebirala nga bwe kiba kyetaagisizza.

Lubowa ne banne, bbo, ssi ba kuno nga bwe tukirowooza era kyekyo lwaki basangibwa nga bazibu nnyo singa oloopebwa empewo ziri endala oba omuntu ye kennyini nga omusobezza, olwo n’okolebwako, oba n’oddirwamu oba ne bakuleka.

**Ekifaanyi kya Lubowa tekirina njawulo n’Enzige oba Ensseenene era ky’ekyo lwaki tewali yali azzeemu kibuuzo nti, Enzige oba Ensseenene zo ziva wa?

Enzige oba Enseenene zino ne mu bitabo ebitukuvu zoogerwako nga Katonda azisindika eri abakyamu. Enzige oba n’enseenene zino ziva mu bbanga wa ssemazinga z’Abamenke.

Era mu bbanga zigenda zikola ekisawo eky’ettundubaali nga bwe zibiika. Kiba kinene ddala naye empewo n’ezikuŋŋunsa ekitundutundu.

Ekitundubaali bwe kituuka nga kikulugguse ebbanga kyeyabuluzaamu olwo Enzige oba Enseenene ziri eziba zivudde mu byagi ne zitandika okubuuka nga bwe zinoonya obunnyogovu n’ettaala ezaaka ekyeruyeru oba bbululu.

Bwe zimala okutuuka ku ttaka ziddamu oluusi ne zibiika amagi ku ttaka n’e mumazzi okuvaamu ebirala. Naye bwe zigwa mu malungu ziddamu okwekumaakuma ne zibuuka okugenda awali embeera ennungi.

Obwo obugwa ku nnyanja bwegatta okukola ekigabo ng’ennyumba y’enjuki. Olwo ne zivunda ku ngulu ate mu munda ne zikyuuka okukola ebivunyu ebiyitbwa binnamatimbo.

Binnamatimbo bwe byevisaamu bikola ebirala nga mukene oba enkejje. Era bw’otunuulira Mukene oba Enkejje tewali njawulo na Nseenene oba Enzige . Ate era Enkejje zijja, oluvannyuma lw’omwezi ng’Enseenene oba Enzige zimaze okugwa.

Bw’okebera ebirungo by’Enseenene oba Enzige osanga bya njawulo, sso si nga eby’ebiwuka ebirala, ebya kuno!

OKUWUMBAWUMBA OBWALUBOWA

Kale nno Obwalubowa buwanvu naye bwe kiba nti Enseenene oba Enzige ssi za kuno, ate nga ne Lubowa empewo nayo ng’efaanana Abamenke, ate nga tewali annyonnyola bya bamenke, kirabika nti waaliwo olujegere wakati; w’abantu, Katonda n’Abamenke kubanga kyewuunyisa Obwalubowa bwe tumanyi emyaka n’ebisiibo okuba nti omukiise ate afaanana Abamenke, ate Enseenene n’Enzige zifaanana Abamenke ate nga tewali annyonnyola gye biva.

N’olwekyo Lubowa Empewo, yabeeranga mukiise wa Katonda, ate ng’akola emirimu gya Katonda, ate nga mumenke, kirabika n’Abamenke b’ebisowaani, n’abo abamenke abali mu bw’ennyama, nabo bintu bya Katonda, era Abamenke ab’omu bbanga, ab’oku lukalu n’ab’omumazzi batya Katonda!

*As researched and written by Kabona Nsimbi Bagonza Basajjassubi in his book “Olutalo Lw’Obutonzi”.

☥☥

#NnalubaaleRootsWarrior

This post was created with our nice and easy submission form. Create your post!

Report

Written by TShaka Mayanja (0)

Called To Serve. Develop. Support. Promote. Produce. Lift. Live Music.☥?☥☥✊?☥.
Head Funkmaster at BlackRoots Unlimited & The Roots Warriors Of Nnalubaale

What do you think?

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

True Love is beyond physicals

THE CHINESE BAMBOO LESSONS FOR A YOUNG ENTREPRENEUR